Psalms 95

1 aMujje tuyimbire Mukama;
tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.
2 bTujje mu maaso ge n’okwebaza;
tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.

3 cKubanga Mukama ye Katonda Omukulu;
era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
4Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;
n’entikko z’ensozi nazo zize.
5 dEnnyanja yiye, kubanga ye yagikola;
n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.

6 eMujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;
tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.
7 fKubanga ye Katonda waffe,
naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,
era tuli ndiga ze z’alabirira.

Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,
8 g“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba
Meriba kitegeeza okwemulugunya
,
ne ku lunaku luli e Maasa
Maasa kitegeeza kugezesa
mu ddungu;
9 jbajjajjammwe gye bangezesa;
newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.
10 kAbantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;
ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,
era tebamanyi makubo gange.’
11 lKyennava ndayira nga nsunguwadde nti,
‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”
Copyright information for LugEEEE